TV-10 Gano Mazima
National NewsOpinions & Blogs in Features News

EBYENJIGIRIZA: KY’EKISEERA GAVUMENTI EKENDEZZE KU BISALE BY’AMASOMERO

Kyanaku nti ennaku zino abaana bangi bava mu masomero olw’obutaba na ssente nnyingi ezisobola okusasulira fiizi zaabwe. Okusinziira ku bibale ebisembyeyo, abaana ba pulayimale ebitundu amakumi ana mu bitaano ku buli kikumi bava mu masomero nga tebannamaliriza buyigirize bwabwe ate ebitundu amakumi asatu ku buli kikumi abaana ba siniya bava mu masomero nga tebannamaliriza kubanga famire zaabwe tezisobola kusasula ssente za bisale by’essomero.

Bw’oba ojjukira bulungi nnyo emyaka egiyise amasomero ga Gavumenti tegasabangako ssente nnyingi okusukka sillingi za Uganda ebikumi bibiri. Naye leero amasomero ga Govumenti agasinga gasasula akakadde ka sillingi za Uganda kamu n’okudda waggulu. Ebintu ebyatandikibwawo edda ku bwereere kati bya kusasulibwa ku bbeeyi yawagulu ddala. Bwe kituuka ku masomero g’obwannannyini basukkawo. Kyokka mu nsi z’amawanga g’obuwanjuba nga Canada ebyenjigiriza bya bwereere kubanga Gavumenti yaabwe ekola ku bannansi baayo nga bakozesa emisolo gye bawa.

Ffenna tukkiriziganye nti oluvanyuma lwa Covid abasinga obungi ku ffe emirimu gyataataaganyizibwa era abasinga n’ebagifiirwa era ebintu tebyasigala nga bwe byali mu by’ensimbi. Gavumenti esaasire abazadde abali mu byalo abatasobola kutwala baana babwe ku masomero. Singa abaana abasinga obungi mu ggwanga lyaffe bava mu masomero ani gwe tunaasinziirako mu maaso eyo? Eky’ennaku n’abo abasobodde okumaliriza bagenda mu mawanga ag’ebweru okufuna emirimu emirungi.

Tulaajanira Gavumenti ekendeeze ku ssente ze bisale by’amasomero bw’eba nga tesinga kwagala bagwira kujja kuddukanya malwaliro gaffe, bbanka, kkooti z’amateeka ne bizinensi endala zonna.

Wa endowooza yo kubutya Gavumenti gy'eyinza okuyambamu ku muzadde alina omwana ayagala okweyongerayo n'emisomo gye naye nga talina busobozi bumala.

Related posts

Kisoro Officials Held as Probe into Alleged Shs200 Million Job Scam Continues

Barbra Zeka

Buganda Kingdom Unveils 2026/27 Budget, Closes 2025/26 Financial Year

Barbra Zeka

Census Day One Marred By Confusion

admin

Billions Down the Drain: Corruption and Incompetence Rocks The Great URA Heist 15.7 Billions Lost to Dubious Deals.

admin

BoU Governor Warns Excessive Government Borrowing Could Crowd Out Private Sector

Barbra Zeka

The Higher Education Students Financing Amendment Bill Has Been Passed.

Sir Dean Lubowa Saava

Museveni, US Special Envoy Discuss Security Matters Over Sudan Conflict.

Sir Dean Lubowa Saava

UMSC Re-elects Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje as Mufti of Uganda

Sir Dean Lubowa Saava

Kawempe North By-Election Hots Up

Sir Dean Lubowa Saava

Bulambuli Officials Remanded Over Corruption Charges

Barbra Zeka

Leave a Comment